Jump to content

Ssematalo

Bisangiddwa ku Wikipedia
ssematalo

Ssematalo kuba kulwanagana okuyinza okubaluka wakati w'ensi zi kirimaanyi, nga buli ludda luyinza okuwagirwa ensi ezikyakula. Ebiseera ebisinga, okukyankalana naddala mu by'enfuna oba eby'obusuubuzi olw'ensonga z'eby'obufuzi; bye bimu ku bizze bireetawo zi ssematalo, olwo buli nsi n'eyagala okwolesa amaanyi gaayo n'obumanyirivu naddala mu by'okulwana, okusobola okukakkanya endala.[1]

Ekigambo kino kyatandika okukozesebwa bannabyafaayo naddala mu masekkati g'ekyasa eky'amakumi abiri, oluvannyuma lw'okulwanagana kw'amawanga amangi mu ssematalo eyasooka n'ow'okubiri. Ng'oggyeeko ekyo, omutindo gw'eby'okulwanyisa gwali gulinnye, ne kireetera ebyavaamu byonna okubeera eby'obulabe okusinga ku bwe gwali gubadde.

australian army in world war 1

Ssematalo ow'oluberyeberye yatandikawo nga 28-07-1914 n'akomekkerezebwa nga 11-11-1918. Okutwaliza awamu, yakulungula emyaka 4, emyezi 3 ne ssabbiiti 2 beddu. Wadde nga eby'okulwanyisa mu kiseera ekyo byaliwo, byali bitono mu muwendo era bingi ku byo byafulumizibwa kkampuni ez'enjawulo wakati ng'olutalo lugenda mu maaso.

Amawanga nga Germany, Bulgaria, Austria n'endala mpitirivu, zaali ku ludda lumu nga zikubagana ne Russia, United States, Bufalansa n'endala. Zino zaali ziyambibwako ensi nnyingi omuli n'ezo ezaali amatwale gaazo naddala ku Lukalu Lw'abaddugavu — ezaali zikozesebwa olw'okubanga zaali tezinnafuna bwetwaze mu kiseera ekyo.[2]

Mu kumaliriza, abajaasi abaasoba mu bukadde 9 be baalugulamu obulamu nga bakyali na mu byambalo byabwe. Abandi, abaali bakunukkiriza eyo mu bukadde 23 baasigala n'ebisago eby'amaanyi. Olw'okwesibiranga munda mu mayumba ne babulwa eby'okulya, eby'obujjanjabi n'ebyetaago ebirala; bangi ku bantu ba bulijjo, obukadde 7 baalufiiramu.

signing to end world war 2

Ssematalo Ow'okubiri yatandika nga wayiseewo emyaka 21 gyokka oluvannyuma lw'oyo eyasooka, gamba, nga 01-09-1939 n'akulungula emyaka 6 egijjudde, ppaka nga 02-11-1945. Luno lwali kafungulankete era mu byafaayo by'ensi bukya etandikawo, lwe lumanyikiddwa okuba nga mwe mwasinga okuyiikira omusaayi, buli nsi nga yeemala eggoga.

Ensonga eyaluleetera okukoleera, ye Bugirimaani eyali ekulemberwa nnakyemalizi Adolf Hitler, eyamenyawo endagaano y'emirembe obutayingirira nsi ndala, n'asalawo okulumba Poland okugyezza. Olwo amawanga agaali geetaaga eddembe omwali United Kingdom ne France, gaalangirira olutalo ku yo nga 3 Sebutemba.[3]

Obutafa ku kya kucookooza, mikwano gya Hitler baamwegattako, okulwana ne kweyongera kumpi okwetooloola ebitundu by'ensi byonna omuli Bulaaya, Buwarabu, Afrika n'ebirala. Olw'okubanga eby'okulwanyisa eby'obutwa byakozesebwa ku mulundi guno, gye baggweera, omugatte gwa bajaasi obukadde 24 okuva ku njuyi zombiriri baalekebwa bafu.

Obutakoma kw'abo, n'abantu abatamanyanngamba abaasukkira ddala mu bukadde 50 tebaawona. Olwo abateeberezebwa okuba eyo mu bukadde 85, omuli ennganda zaabwe, baasigala n'ebiwundu bya nsusso — mu bwavu obw'ekitalo. Olw'obunkenke obwasigalawo, be kikwatako baayanguwa mbiro okulola endagaano z'okutabaganya n'okubukanya emirembe egyaliwo mu ntandikwa.

Wadde nga ssematalo asooka n'ow'okubiri y'akyasinze okwogerwako, waliwo ssematalo endala mpitirivu ezizze zirwanibwa, nga muno mulimu olwatuumibwa Seven Years' War, olwaliwo eyo mu kyasa eky'e 18 (1756-1763). Ng'oggyeeko ng'olwo, waaliwo n'endala ezizze zibaawo wabula ne zitalangirirwa mu butongole kubeera ssematalo.

Abeekenneenya ensonga bangi bazze balagula ssematalo ow'okusatu naddala mu kyasa ekya 21, olw'obumulumulu obuli wakati w'amawanga ga kirimaanyi okugeza America ne Russia.[4] Era mu kiseera kino (2023), olutalo olugenda mu maaso wakati wa Ukraine ne Russia, lugambibwa okuvujjirirwa ensi nga America. Wabula era lukyayitibwa kikwekweeto ky'amagye (Military Operation).

Enteekateeka z'okuziyiza

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw'okugezesanga eby'okulwanyisa eby'obusagwa n'obukosefu obwalekebwawo naddala oluvannyuma lwa ssematalo ow'okubiri, kino kyaleetera amawanga mangi okussa ebirowoozo mu kukubagana, olwo Ssaayansi ne Tekinologiya eyandiyambye ensi n'aggyibwako essira, era ne kireetawo n'obukendeevu mu byenfuna.

Butereevu, ekitongole ekigatta amawanga gonna, United Nations, kyatandikibwawo mu Okitoba 1945, okuteekawo obwegassi obukomererayo.[5] Ekiseera ekyo, abakulembeze okuva mu nsi 50, baasisinkana mu kibuga San Francisco, United States. Oluvannyuma, amawanga mangi gazze geegatta ku mukago guno wadde nga wabaawo obusonga obutonotono obuzze bubaluka wakati w'agatali gamu.

Omuwandiisi: Ibraheem Ahmad Ntakambi

  1. Sheffield 2002, olup. 251.
  2. Richard F. Hamilton; Holger H. Herwig (eds.). The Origins of World War I. Cambridge University Press. pp. 4–9. ISBN 978-1-107-39386-8.
  3. Weinberg 2005, olup. 6.
  4. Anne Barnard and Karen Shoumali (12 October 2015). "U.S. Weaponry Is Turning Syria Into Proxy War With Russia". The New York Times.
  5. History of the United Nations | UN.org - History