James Kazini
Major General James Kazini (1957–2009) yali Munnayuganda omuserikale wa magye eyaweerezaako ng'omukulembeze w'abakozi mu Uganda People's Defense Force okuva mu 2001 okutuusa mu 2003.[1]
Ebyafaayo bye
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu1957 mu ggwanga lya Basongora, mu Disitulikiti ye Kasese, mu Bugwanjuba bwa Uganda.[2] Teyasoma kugeenda wala nnyo. Nga 1984 tannatuuka, Kazini yali memba wa Uganda National Rescue Front, ekibiina ky'abayekere ekyali kikulemberwa General Moses Ali, nga kisinzira mu West Nile, mu bukiikakkona bw'obugwanjuba bwa Uganda. Awo nga mu 1984 yava mu kibiina ekyo neyegatta ku National Resistance Army, ekyali kikulemberwa Yoweri Museveni, nga omujaasi eyawandiisibwa.[3]
Yafuuka omu ku bakuumi ba Salim Saleh. Yafuuka omujaasi omukugu ku ddaala lya Captain mu 1987, Major mu 1989 ne Lieutenant Colonel mu 1991.[1][3]
Okuwummuzibwa ku mirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gwekkuminebiri 2003, President Yoweri Museveni, Omuduumizi ow'okuntikko owa UPDF, yatwala Kazini ne banne abajaasi abakugu kkumi nababiri mu kkooti y'amagye ku misaango egyenjawulo, okusingira ddala, okuteeka n'okukuumira abaserikale abataliiyo oba ab'empewo ku lukalala lwa bannamagye abasasulwa. Abalala baali, Brigadier Nakibus Lakara (yaliko akulira abakozi mu magye), Brigadier Henry Tumukunde (yaliko akulira ekitoongole ky'ebyokwerinda eby'omunda) ne Brigadier Andrew Gutti, eyasonyiyibwa era n'akuzibwa eddala.[4]
Nga 27 Ogwokusatu 2008, Kazini yakaaba nga Kkooti y'amagye ng'ekulemberwa Lieutenant General Ivan Koreta emuwadde ekibonerezo kya myaka esatu mu kkomera olw'okufiriza gavumenti obukaddde 60 (ezenkanankana US$30,000). Kazini n'abalala abaali bakyagezesebwa, bagambibwa okukuuma amannya 24,000 ag'obulimba ku lukalala lw'abaserikale abasasulwa ekyaleta okufiilwa obuwumbi 600 (zibalibwamu obukadde US$300 million) okumala emyaka 13.[5]
Oluvannyuma yaddukira mu kkooti y'amateeka nga awakanya ekibonerezo ekyamuwebwa, nga agamba nti kkooti y'amagye teyarina buyinza kuwulira musango ogwamuteekebwako, naye teyawangula kujulira. Yajulira mu Kkooti Ensukkulumu era omusango gwatuuka okuwulirwa.[1][3]
Obukulembeze bwe mu magye
[kyusa | kolera mu edit source]Ekimu ku bimwogerwako era ebyamuyamba okulinnyisibwa ku madaala ag'awaggulu mu UPDF kwe kuba omuserikale ateetitirira, nga akulembera abaserikale be mu lutalo nga yaakulembedde mumaaso, nga bweyakola mu Operation Kitona mu lutalo lwa Congo olw'okubiri. Embala endala kw'ekuba omuwulize eri Omuduumizi ow'okuntikko ne UPDF. Museveni agaambibwa obutafaayo emirindi mingi ku kwemulugunya nti Kazini yalina obuyigirize butono. Okumala emyaka, yamulinnyisa amadaala era nga amwongera obuvunanyizibwa mu by'okwerinda ne mu magye.[6][7]
Okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ku makya ga nga 10 Ogwekkuminogumu 2009, ku ssaawa nga kkumi nabbiri ez'okumakya, Major General James Kazini yafiira mu maka ga muganzi we, mu Kampala e Namuwongo, oluvannyuma lw'okukubibwa akatayimbwa ku mutwe mu kulwanagana ewaka. Weyafiira James Kazini yalina emyaka 52.[8]
Agambibwa okumutta, ow'emyaka 28 Lydia Draru, amanyikiddwa mungeri ezengyawulo, yakwatibwa, nasimbibwa mumaaso g'omulamuzi wa kkooti ento era n'asindikibwa mu kkomera, ng'alindirira okuwozesebwa ku musango gw'okutta omuntu.[9] Kazini yaleka abaana 5, abawala 4 n'omulenzi 1, okuva mu bakyala babiri. Agambibwa okumutta teyamulinaamu mwana.[10]
Lydia Draru yawozesebwa nasingisibwa omusango gw'okutemula omuntu. Mu 2011, yaweebwa ekibonerezo kya myaka kkumineena mu kkomera. Obusibe bwe yabumalirako e Luzira Maximum Security Prison.[11][12] Yateebwa okuva mu kkomera nga 12 ogwoluberyeberye 2021. Emyaka ebiri gyasalibwa ku kibonerezo kye olw'ebikolwa bye ebirungi ng'ali mu kkomera. Emyaka ebiri gyeyamala mu kkomera ng'awozesebwa nagyo gy'abalibwa ku kibonerezo ekyamuwebwa.[13][14]
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://web.archive.org/web/20091115085304/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/701063 Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "1R" defined multiple times with different content - ↑ https://web.archive.org/web/20091113081556/http://www.monitor.co.ug/artman/publish/news/How_Kazini_plotted_rise_of_his_tribesmen_94489.shtml
- ↑ 3.0 3.1 3.2 https://observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=5906:gen-james-kazini-dead&catid=78:topstories&Itemid=59 Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "3R" defined multiple times with different content - ↑ https://allafrica.com/stories/200408120285.html
- ↑ https://www.observer.ug/news/headlines/2977-gen-kazini-traumatised
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1193375/major-james-kazini
- ↑ http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/2974496.stm
- ↑ http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/8352545.stm
- ↑ https://www.observer.ug/news-headlines/6028-draru-charged-with-kazinis-murder
- ↑ https://www.ugandaonline.net/news/view/8580/former_maj__gen__james_kazini_is_dead
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/draru-sentenced-to-14-years-in-jail-1499198
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1005903/draru-14-jail-sentence
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2021/08/draru-woman-convicted-of-gen-kazinis-murder-out-of-jail-going-about-her-business-in-the-city.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/112779/why-draru-was-released-before-completing-her
Ewala w'osobola ekubijja
[kyusa | kolera mu edit source]- General Kazini Killed During Domestic Brawl
- Lydia Dralu's Account of Events Leading to Kazini's Death
- Was Kazini plotting against Museveni?
Template:S-start Template:S-mil Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End